Obulombolombo mu matikkira ga Kabaka, biibino ebikolebwa omulangira nga atuuzibwa ku Nnamulondo
Olunaku lw'eggulo, twalabye engeri Abalangira abasooka gye baakulangamu nga batekateekebwa okufuuka ba Kabaka era twakitegedde nti enkola eyo yadibizibwa ku mulembe gwa Kabaka Namugala asooka eyalagulwa ku jjembe ly'omutabaazi Buddo e Naggalabi.Olwaleero, RONALD SENVUMA k'atutambuze okutuyisa mu bulombolombo obukulu ng'omulangira atekateekebwa okulya Engoma.Olunaku lw'enkya nga 31 Ogwomusanvu, Obwakabaka lwe bugenda okujaguza emyaka 32 bukya Kabaka Muwenda Mutebei atikkirwa.