Obuli bwenguzi mu palamenti: Ababaka batabukidde Tayebwa okubakugira okubyogerako
Wabaddewo okwemulugunya okuva mu babaka ba palamenti oluvannyuma lw'amyuka sipiika Thomas Tayebwa okugezaako okubakugira okwogera ku bibaddewo olunaku lwa leero. Olutuula lwa Palamenti olutandise, Tayebwa n'atuukira ku nsonga ndala nnyo ekijje ababaka mu mbeera. Ono apondoose n'akkiriza ensonga eyogerweko era ababaka nebavumirira nnyo ekya poliisi n'amagye okulemesa abavubuka okutuusa ensonga yaabwe gyebali. Kyokka Tayebwa ababuulidde nti palamenti tenafuna bubaka bwonna nti waliwo abavubuka ababadde batekaateka okuggyako gyebali.