OBUDDE BUBADDE BUTONO: Kalembe agamba okutwalira awamu bigenze bulungi
Wadde ng'abamu ku beesimbyewo beekkokola eryanyi ab'ebyokwerinda lye bazze bakozesa gamba nga amasasi, ttiyagaasi, emiggo n'ebirala, omukyala yekka ali mu lwokaano Nancy Kalembe agamba kampeyini tezimutambulidde bubi okutwalira awamu. Kalembe asuubira buwanguzi - agamba gy'ayise yonna Bannayuganda bamulaze nti baagala enkyukakyuka Ekimuyisizza obubi bwe budde bwa kampeyini bw'agamba nti bubadde butono nnyo ekimuviiriddeko obutatuuka mu buli nsonda ya ggwanga okunoonya akalulu weewawo kijjukirwa nti omukyala ono waliwo ennaku z'abadde tagenda kunoonya kalulu olwa ssente okumuggwaako.