OBUBBI N’ETTEMU E KIBOGA: Kkooti y’amagye ekalize Tamale ne Ssabakaaki
KKooti y'amaggye enkulu etuula e Makindye enkya ya leero esalidde ebibonerezo abasajja babiri ababba omusuubuzi Asuman Mayanja nebatta ne mune Ashiraf atugonza mu bitundu by'e Bukomero mu disitulikiti ey'e Kiboga mu mwaka gwa 2018. Ababiri kuliko Godfrey Tamale gwebasalidde emyaka 46 ne Hassan SSaabaakaki gwebakalize emyaka 41.