OBUBBI E MUKONO: Bana babatemyetemye, bagenze ne ssente
Poliisi ekakasizza ng'abantu bana bwe baalumiziddwa mu bulumbaganyi abanyazi bwe baakoze ku Ssundiro lya Stabex erisangibwa ku luguudo lwe Katosi ku kyalo Namayiba mu ggombolola ye Nakisunga e Mukono. Abanyazi bagambibwa okuba nga baatemyetemye abakuumi babiri n'abakozi abalala babiri n'oluvannyuma ne bakuulita ne ssente ezitannaba kutegeerekeka muwendo. Ebimu ku bibbe bano bye baatutte bisangiddwa ku kasasiro alinaanyewo.