NRM eyiyiizza obukodyo obupya ku kuwangula Kampala
Emyaka nno kati giweze ng'ekibiina ki National Resistance Movement kirwana okufuna obuyinza bw'ekibuga Kampala wabula nga wano ab'oludda oluvuganya balumiddewo n'ogw'engulu. NRM yatuuka n'okussa obuwuumbi n'obuwuumbi mu nsonga eno wabula era bannakampala akalulu bwekatuuka, basigala balonda bakulembeze ba ludda luvuganya. Mu kalulu k'omulundi guno, tukukubidde tooci mu byobufuzi bya Kampala n'okulaba emikisa NRM gy'erina okumwefuga.