NRM erabudde abeesimbyewo, abalyenyigiramu bandisazibwamu
NRM erabudde ku ffujjo mu kamyufu kaayo mwe bagenda okulondera abanaabakwatira bendera ku bifo by'ababaka ba Palamenti mu kalulu ka 2026.Okusinziira ku bakulu mu kibiina, abeesimbyewo mu kamyufu kano boolekedde okugobwa singa beenyigira mu ffujjo ly'ekika kyonna so nga nakalulu kaakusazibwamu. Bano boogeddeko n’abamawulire okubadde Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Tanga Odoi ne Ssaabawandiisi w’ekibiina Richard Todwong.