Nnaabagereka atongozza Ekisaakaate mu ggwanga lya Amerika
Nnaabagereka wa Buganda Sylvia Naginda ategeezeza nti okuyigiriza abaana obuwangwa yemu kungeri gyebagenda okukyusa enkolagana y’abantu mu bulamu obwa buliijo ssaako n’okutumbula eby’obulamu, ebyenjgiriza mu Uganda sako n’ebitundu ebyenjawulo okwetoloola ensi yona. Bino Nnaabagereka abyogeredde ku mukolo gw'okutongoza Ekisaakaate mu ggwanga lya America nga guno guyindidde mu kitundu kye Norwood mu Ssaza lya Boston Massachusetts.