Nixon Agasirwe akwatiddwa ku by’okufa kwa Joan Kagezi
Ensonda ezeesigika zitubuulidde ng’eyaliko omuserikale Nixon Agasirwe bwakwatiddwa nga ono kigambibwa nti yandiba n’akakwate ku kuttibwa kwa Joan Kagezi eyali amyuka omuwaabi wa gavumenti mu mwaka 2015.Tukitegedde nti ono okukwatibwa kyaddiridde omujjulizi omukulu mu musango guno Daniel kisekka okukakasa nga omusajja gwajjukirako elya Nixon lyokka bweyaba ensimbi, nabatuma okutta Kagezi.