NIC bamalirizza emizannyo gyabwe egya laawundi esooka mu liigi y’okubaka
Bannantameggwa ba liigi y’okubaka aba National Insurance Corporation olunaku lwa leero bamalirizza emizannyo gyabwe egya laawundi esooka mu liigi y’okubaka nga tebakubiddwamu . Bano bagudde maliri ga ggoolo 44-44 ne ttiimu ya KCCA. Guno gwe gumu ku mizannyo egizanyiddwa olwaleero ku kisaawe kya Police Childrens’ School e Kibuli. Mu mirala egyizannyiddwa, Uganda Prisons ekubye Makindye Weyonje ggoolo 50-46, UPDF n’ekuba Posta ggoolo 61-43 ate Uganda X Luwero n’ewangula KBK 64-27.