NABBANJA NE KADAGA: Abalonzi gye bava basiimye Museveni okubalonda
E Kakumiro abaayo basanyufu olw'omukulembeze w'eggwanga okulonda omubaka waabwe omukyala Robinnah Nabbanja ku bwa ssaabaminisita ssaako ne Fred Byamukama ku bwa minista omubeezi ow'ebyenguudo. Ne Kamuli abaayo boogedde ku kifo ekyaweereddwa Rebecca Kadaga eyali Sipiika mu palamenti y'ekkumi.