Nabbanja akunze aba Kitgum okuwagira NRM
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja asabye abantu mu bitundu bye Acholi okuwagira ekibiina ekiri mu buyinza kyagamba nti kyekyokka ekigenda okubatuuse ku lyengedde. Nabbanja abadde ku mukolo gw’olunaku lw’abakyala ogwategekeddwa minisita omubeezi ow’ebyobutonde Beatrice Anywar. Eno Anywar gyayanjulidde abantu abawerako abaasaze eddiiro okuva mu kibiina naye mwe yali ki FDC okudda mu NRM.