Muve mu kwekubagiza: Katikkiro agugumbudde bannaluwero, abasabye bakole nnyo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agugumbudde banna Luwero okukomya okukungubaga olw’olutalo olwabayitamu wabula bakole nnyo okwejja mu bwavu n’okukulakulanya ekitundu kyabwe nga bayita mu bulimi n’obuluunzi. Katikkiro abadde Luwero ku mwoleso gwa Buganda ogw’eby’obulimu oguyindira ku kisaawe ky’e Kasana mu district ye Luwero. Katikkiro agamba nti abantu abali mu Luwero mu kiseera kino bazaalibwa olutalo luwedde nga tebalina kwekwasa kya lutalo Omwoleso guno era gwetabidwako akulira eby’ensimbi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Jane Balekye, awaddeyo obukadde 413 okuddukirira enteekateka ya Mwanyi Terimba.