MUVE MU BUWUULU: Katikkiro akalaatidde abavubuka
Katikkiro Charles Peter Mayega, asabye abantu naddala abavubuka okwewala enkola ey’ekiwuulu gyebettanidde ennyo ensangi zino. Agamba nti amaka n’obufumbo buwangwa obuwedde emirimu, omusibuka abantu abalimu ensa. Bino abyogedde bwabadde asisinkanye abakulembeze ba Tuesday class e Lubaga, ababadde bagenze e Mengo okumusaba obutasuulirira kwogera ku nsonga z’amaka agasasise ensangi zino olw’ensonga ezitaliimu.