Museveni talina kuvuganyizibwa, Byamukama atandise okukuyegera Museveni ku kya ssentebe wa NRM
Minisita omubeezi Ow'ebyentambula era nga ye mubaka wa Bugangaiyizi West mu Palamenti agamba wakukunga bannakibiina mu disitulikiti ye Kakumiri okuwagira Ssentebe wa NRM Yoweri Museveni obutavuganyizibwa ku ky'okukwatira ekibiina bendera ku ky'obukulembeze bw'eggwanga .Byamukama okwogera bino abadde akwasibwa w'ofiisi y'obwa ssente bw'ekibiina mu disitulikiti ye Kakumiro oluvannyuma lw'okuyitawo nga tavuganyiziddwa .Ye eyaliko minisita omubeezi ow'ebyemazza Ronald Kibuule, naye atandise ku kaweefube w'okulaba nga NRM efuna obuganzi mu balonzi mu disitulikiti ye Mukono .