Wuuno Joshua Mwenda yafuna zaabu mu za africa, kati yeetegekera za nsi yonna
Joshua Mwenda munnayuganda eyakawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka z'ebikonde ez'abavubuka ku lukalu lwa Africa mu buzito bwa Light Welter weight azzeemu okutendekebwa nga yeetegekera empaka z’ensi yonna eza World Youth Boxing Championship ezinabeerayo omwaka guno.Omusasi waffe Regina Nalujja, ayogeddeko naye okulaba bweyetegekedde empaka zino.