Nazzikuno: Biibino ebikwata ku kibira lugo omuggyibwa ddamula
Buli katikkiro w’abuganda yena abeera alidde obwakatikkiro akwassibwa ddamula amuwa obuyinza okulamulirako Ssaabassajja ebweru w’olubiri .Nga ddamula ono tanabangibwa baSsekabaka abasooka ddamula owabwe gw’abanga mulamula era nga gweyakozesanga okukuba olubiri olulwe.Naye olwa ssematalo eyebeerawo abantu b’abwe baali battibwa nyo kwekwesalira amagezi nebaddukira e Ssese ewagambibwa okuva amanyi agassibwa mu ddamula ono era okuva lweyabangibwa n’okutuusa esaawa y’aleero yooyo gwokyalaba n’ekumulembe guno omutebi.