Musanvu bafudde mu kabenje e Nakasongola, bana bapookyeza mu ddwaliro
Abantu musanvu bafiriddewo mbulaga n’abalala bana n’ebaddusibwa mu ddwaliro nga bali ku bisago eby’amaanyi mu kabenje ddekabusa akagudde e Nakasongola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu. Akabanje kano kavudde ku Takisi ebadde eva e Kampala ng’eyolekera Kinyogoga eyingiridde lukululana ebadde esimbye mu kkubo. Akabenje kano kaaguddewo ku kyalo Kyampisi ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro ekiyise.