MMOTOKA Y’AMASANNYALAZE: Omu ku bagikozesa agamba asaasaanya ssente ntono nnyo
Nga banauganda beekokkola bbeeyi y'amafuta etasalako, waliwo abo abatandise okwettanira mmotoka ezitambulira ku masanyalaze. Mmotoka eno ekekkereza nnyo obwegerageranya n'ezabulijjo ezikozesa amafuta. Omu ku balina emmotoka eno agamba nti okugenda e Msaka n'okudda asaasaanya emitwalo esatu ez'amasannyalaze.