Minisita Mayanja ayingidde mu by’abagobwa ku ttaka, asazizzaamu ebyapa 2 e Luzira
Abatuuze n’abavubi abawangaalira ku mwalo gwa Portbell e Luzira bafunye ku buweerero oluvannyuma lwa Minisita omubeezi ow’ebyetaka Sam Mayanja okusazaamu ebyapa bibiri ku ttaka bano kwebabadde balaalikiddwa okugobwa. Minisita Sam Mayanja agamba nti ebyapa bino tebyaafunibwa mu makubo matuufu. Ono leero asiibye mu bitundu by’e Luzira ng’agonjoola ensonga ezeekuusa ku kugobaganya abantu ku ttaaka nga waliwo nebaalagidde badde ku ttaka lyabwe oluvannyuma lw’okufuumuulwa.