Minisita Mayanja ayimirizza okugoba ab’ebibanja ku ttaka mu ggwanga
Minister omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja alangiridde nga bwaweze ebikolwa byonna eby’okusengula abantu okuva ku bibanja byabwe kubanga kino kikontana ne ssemateeka we ggwanga. Mayanja agamba nti kkooti yonna eyisa ekiragiro ekisengula abantu ekikola mu bukyamu kubanga ssemateeka awa obukuumi ab’ebibanja. Ono abadde Semuto mu district ye Nakaseke gyagenze okulambula ku mutuuze Stephen Mugambwa gwebakonera enyumba ye, era alese alagidde Sula Serunjogi agambibwa okukoona enyumba eno okukwatibwa era avunanibwe.