MINISITA BALAAM MU PALAMENTI: Alayidde n’asiikula emmeeme z’abavuganyizza
Ba minisita abawereddwa ebifo nga si babaka ba palamenti olwaleero bakubye ebirayiro mu palamenti kuno nga kubaddeko Balaam Barugahara nga ono ye minisita omubeezi ow’abavubuka n’abaana. Balaam atabudde ab'oludda oluvuganya bwategeezeza nti abalinze okumukwasa olukalala lw’abantu abali mu makomera nga bawagizi ba NUP alabe nga bateebwa kyokka kyebatanakola.Ono ababaka abavuganya bamulangidde sso nga aba NRM bamusanyukidde.