Manya lwaki olina okweteekerateekera okufuna olubuto | OBULAMU TOOKE
Okusinzira ku bakugu mu nsonga z’okuzaala buli mukyala asaanye okwetegekera okufuna olubuto so ssi kumugwako bugwi. Kino abakugu bagamba kiyamba okumanya obulamu bw’omukyala oba anaasobola okwetika olubuto ssaako n’enkula y’omwana gwe yeetegekera okusitula okubeera omulamu obulungi. Mu mboozi yaffe eya Bulamu Ttoke, katwongere okunnyonnyoka obukulu bw'ekiseera ekyo ng'omukazi tannafuna lubuto.