MAAMA FINA: Abasawo bamwongedde ekisanja ekirala
Sylvia Namutebi amanyiddwa enyo nga Mama Fina asabye waberewo okwatagana wakati w'abasawo b'ekinansi nebanaddiini okumalawo obukubagano obuzze bubalukawo kunyinyonyola ya katonda okuva ku njuyi zombi . Ono okwogera bino abaadde atikkibwa obukulembeze bw'abasawo b'ekinnansi mu ggwanga omulundi ogw'okusatu.Emikolo gino gibadde mu disitulikiti ye Wakiso.