Lukwago aleese emmotoka okuyoola kasasiro mu kibuga
Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago atubuulidde nti okutereeza ekizibu kya Kasasiro aviiriddeko ekibuga okucumuuka, kijja kutuukirira gavumenti ekkirizza okubawa ensimbi okufuna ekifo eky'enkalakkalira webamuyiwa. Newankubadde KCCA ekyalina akalembereza akayiwa Kasasiro e Katikolo n'e Nkumba, bagamba nti akagendo kawavu nga kale mmotoka zikola emirundi mitono bw'ogerageranya ne bwegwali nga bamutwala e Kiteezi. Lukwago agamba nti kati n'amafuta gafuuse gakkekwa okusobola okuyoola kasasiro aggwe mu kibuga. Ono olwaleero yeenyigidde mu kuyoola kasasiro mu bifo ebisinze okukosebwa embeera eno.