Limbo ya KCCA e Kira:Emirambo giziikibwa kungulu
Ekitongole ki KCCA kiri mu kattu oluvannyuma lw'olukiiko lwa ba kkansala ya munisipaali y'e Kira okusalawo okubayimiriza okuddamu okuziika mu limbo y'e Kirinya - Bukasa mu gombolola y'e Bweyogerere. Ab'eno bagamba nti ekifo kino kyajjula dda, era nga aba KCCA kati emirambo bagiziika kumpi ekiviiriddeko ekivundu okwebungulula ekitundu. KCCA etubuulidde nti ddala kituufu ekirina ekizibu kino naye nga nayo eri mu kwetereeza okufuna weziika awagazi.