Liigi y’abakyala empya; FUFA ekomekkerezza okugitalaaza
Wiiki ewedde, ekibiina ekitwala omuzannyo gw'omupiita mu ggwanga ki FUFA ky'ayanjula ekikopo kya liigi y'abakyala ey'okuntikko ki FUFA Women Super league ekiggya era ne batandika okukitambuza mu bitundu eby'enjawulo.Ky'asookera ku National Media group nekitwalibwako n'ewa Nabagereka wa Buganda. Kati olw'aleero bano bakomekkerezza omulimu guno nga bakyanjula eri abavuggirizi ba liigi eno abakulu.