KYAGULANYI E GOMBA: Avumiridde ekibbattaka, asabye abantu okuba obumu
Robert Kyagulanyi, yekokodde ekibbattaka ekisitudde enkundi mu district ye Ggomba ekiviirako n'abantu ku byalo okusengulwa nga tebalina gyebadda. Ono agamba nti kino tekiri eno yokka wabula kisasaanidde eegwanga lyona, wabula nga kirina okukoma. Kyagulanyi era ajjukiza abantu be Gomba ng'ekibiina kyakulembera bwekitasosola okusinziira ku mawanga gaabwe oba eddiini era nga kino kyekibafudde abanejawulo. Ono bino abyogeredde ku mukolo, ogw’okusabira omwoyo gw'omugenzi Musinya Charles Kato ogubadde ku kyalo Kakomo mu gombolola ye Mpenja.