Kyagulanyi akunze bannakibiina okuvaayo okwenyigira mu kalulu k’abavubuka
Akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu akunze bannakibiina okuvaayo okwenyigira mu kalulu k’abavubuka akabindabinda. Kyagulanyi agamba nti singa abavubuka bavaayo mubunji, kyakubasobozesa okuwangula ebifo byona mu kalulu kano kwosa n’okuzimba emirandira gy’obukulembeze mu kalulu ka bona aka 2026. Okwogera bino Kyagulanyi abade Kiteezi mukutongoza kakuyege w’akalulu k’abavubuka.