Kompyuta ezineeyambisibwa mu kulonda kwa 2026 zijja, gavt yaakusaasaanya obuwumbi obusukka mu 250
Gavumenti etubuulidde nga bwetandise okubaga etteeka erigenda okusobozesa akakiiko k’ebyokulonda okweyambisa ebyuma bikali magezi mu kulonda kwa 2026. Okusinziira ku minisita wa mateeka Nobert Mao, ebbago lino erikyali mu bubage likyali mu Cabineti kyokka nga watereddwawo akakiiko ka bantu musanvu okwekaanya ebitereddwamu.Akakiiko k'e byokulonda, kagamba kakugula ebyuma ebipya nga buli kifo ewalonderwa wakuteekebwawo ebyuma bibiri. Era nga omulimu gwokugula ebyuma bino gwakuwemmenta obuwumbi bwawano obusoba mu 250.