kkampeyini z’akamyufu ka NRM leero lwezikomekkerezeddwa, abeesimbyewo bakunze obuwagizi
Efujjo lyefuzze ebitundu ebyenjawulo bannakibiina kya NRM bwebabadde bakuba kampeyini zaabwe ezisembayo nga bolekera okulonda kwa kamyufu kaabwe ku lwokuna lwa sabiiti eno.E Bukoto west mu disitulikiti ye lwengo, bangi ku babadde tebawagira Ibrahim kitatta balozeza ku bukambwe bwakakkundi ke nga bangi baddusiddwa mu malwaliro agenjawulo nga bapookya.