KITONE KYA NALUKWAGO: Ayongedde okufuna essuubi bwayingidde sityudiyo
Waliwo omuwala gwe twalaga omwezi oguwedde nga muzibe, takwata era tatambula eyali ayagala ennyo eby’okusoma naye n’alemererwa olw’obulemu n’asalawo yeesibe ku ky’okukulaakulanya ekitone kye eky’okuyimba. Ono waliwo abazirakisa abaavaayo okusondayo ku nsimbi zimuyambeko okutuuka ku kirooto kye Kati ono yatandiseko ku ky’okukwata ennyimba ze yeeyiiyirizza ku butambi era olunaku lw'eggulo abadde mu studio z’omu ku basunsula ennyimba Paddyman.