Kazambi ava mu fakitole: Waliwo abatutte kampuni ya sukaali mu mbuga
Waliwo abatuuze mu town kanso y’e Kakooge mu district ye Nakasongola abawazeewaze Kampuni ekola sukaali eya Victoria Sugar esangiwa e Ndibuluungi mu district y’e Luwero nebagikuba mu mbuga z’amateeka nga bigivunaana kuta kazambi n’akulukutira mu mazzi g’olutobazi Lubenge. Kazambi ono agambibwa okukyafuwaza amazzi mu lutobazi luno nga gonna kati maddugavu, nga abatuuze bagamba tebakyayiza gakozesa wadde ensolo zaabwe. Bano bayise mu banameteeka Nalukoola Advocates and Solicitors nga basaba kkooti eyimirize mbagirawo emirimu gya kampuni eno era egiwalirize okulongoosa amazzi gano.