KALENDA YA DDIGI: Empaka Zitandika 29 e Garuga
Kalenda y’omuzannyo gwa ddigi ey’omwaka guno yakugibwako kawuwo nga 29 omwezi guno n’empaka ezigenda okubeera ku Victoria Race way park e Garuga.Empaka zino era zabyafayo kubanga abavuzi abali bekutula ku kibiina ekifuga omuzannyo gw’ebiduka mu ggwanga ki FMU nabo bakuzetabamu oluvanyuma lw’okutuuka ku kukaanya nebanabwe bwebali basowaganye.