JACOB OULANYAH AZIIKIDDWA : Taata we azzeemu okwogera ku by’obutwa
Nathan Okori nga ono ye taata w'abadde sipiika wa Palamenti Jacob oulanyah azeemu okutegeeza abakungubazi mu kuziika mutabani we nga bweyafa obutwa .Ono yayogera ebigamba byebimu nga mutabani we yakafa .Kinajjukirwa nti Poliisi yavaayo netegeeza nga abo aboogera nti Oulanyah yafa butwa bwebagenda okunoonyerezebwako . Kinajjukira nti mu kukungubagira Oulanyah mu Palamenti ssaabiti eno Minisita w'ebyobulamu John Ruth Aceng yategeeza nga ekirwadde kya kkansa bwekyaviirako oulanyah okufa era nga weyatwlibwa mu dwdaliro mu America ebitundu bye ebimu byali tebikyakola .Oulanyah aziikiddwa olwaleero mu disitulikiti ye Omoro.