Harriet Nalubwama ‘Nakawunde’ anyumya ku biseera bye mu katemba
Omu ku bannayuganda eyayatiikirira ennyo mu kuzannya Katemba mu myaka gy’e 90 yali Harriet Nalubwama eyamanyibwa ennyo nga Nakawunde bwe yali azannya n’ekibiina ky’aba THE EBONIES. Harriet yava ku bya katemba n’atandika obulamu obulala mu Bungereza, Kyokka yawuubyeko olubu lw’ebigere mu Uganda. Omusasi waffe Patrick Ssenyondo yasobodde okuwayaako naye n’atubuulira ebimukwatako n’atujjukiza n’obulamu bwe obwa Katemba.