Godfrey Kiwanda agyidde ku ggaali okuwaayo wofiisi
Abadde minisita omubeezi ow'ebyobulambuzi Hon. Godfrey Kiwanda Ssuubi, olwaleero lwawaddeyo yafeesi eno eri minisita eyalondebwa omukulembeze w'eggwanga mu kukyuusakyuusa cabineti okwaliwo, era nakakasibwa ababaka ba palamenti ssabiiti bbiri zetukubye emabega, okuddukanya emirimu mu yafeesi eno. Abakulu mu minisitule eno, bagamba nti bakukwatira wamu ne Kiwanda okwongera okutambuza emirimu gya minisitule eno. Kiwanda nga kati aweereza nga amyuka ssentebe wa NRM mu buganda, ajjukirwa nnyo mu kutumbula eby'obulambuzi mu Uganda, okwali n'okutongoza miss curvy ne rolex okujiteeka ku ddaala ly'ensi yonna.