NRM yeeganye abaanyaze bannakampala, poliisi yakakwata 21
Ekibiina ki NRM kyesambye abavubuka abaalabiddwako mu butambi nga banyaga n’okukuba abantu ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala. Obutambi buno bwakwatiddwa olunaku lw’eggulo abavubuka bano abaabadde banekanekanidde mu mijoozi egya kyenvu bwebaadde bava okuwerekera Pulezidenti Museveni okujjayo empapula z’okuvuganya ku kifo kya ssentebe w'ekibiina ssaako okukwatira NRM bendera ku ky’omukulembeze w’eggwanga mu kalulu ka 2026. Yo poliisi etutegeezezza nti eriko abantu b’eku