GAVUMENTI ETABUKIDDE ABASOMESA: Ku lw’okutaano balina okusomesa, baanukudde
Gavumenti ewadde abasomesa b'amasomo ga Arts abekalakasa olw'omusaala nsalesale wa nnaku bbiri okudda ku mirimu, kino bwekibalema baamuke amasomero gaayo. Gavumenti abasomesa abatamatidde nakusalawo kuno ebawadde amagezi okwekubira enduulu mu mbuga z'amatteka. Kyokka abasomesa bino babiyise kubatisatisa era nebawera okugenda mu maaso nakediimo kabwe.