Fr Mugisha aggyiddwako egy’obutemu
Omuwaabi wa gavumenti e Masaka aggyewo emisango gy'obutemu, poliisi gye yali eggudde ku bwana mukulu w'ekigo kye Bisanje e Masaka Fr Richard Mugisha. Kinajjukirwa nti nga 13 omwezi guno poliisi yali yaggula emisango gy'obutemu ku Rev Fr Richard Mugisha ne Joseph Mutayomba akulira abakuumi ku kyalo Bisanje ku bigambibwa nti beenyigira mu kutta Ronald Kyeyune eyasangibwa nga agezaako okikiitanya mmotoka ya faaza Mugisha. Munna mateeka wa Fr Mugisha Alexander Lule agamba nti kyazuuse nti obujulizi obuliwo tebumala kwongerayo musango guno.