Ffe tetwafuna z’amabugo - Abamu ku baafiirwa abaabwe beekubidde enduulu
Abamu ku bafiirwa abantu baabwe mu njega yakasasiro e kiteezi bakukkulumidde gavumenti olwokulemererwa okubawa amabugo g’obukadde obutaano bweyasuubiza eri famire z’abuli muntu eyafiira mu njega eno. Kyokka RDC w’e Wakiso agamba nti ssente z’abano gyeziri era abawadde amagezi bayite mu bakulembeze baabwe okusobola okuzifuna.