FDC eronze Dick Denis Owani okugikwatira bendera ku kifo ky’omubaka wa Omoro
Dick Dennis Owani yakwasiddwa bendera y'ekibiina ki FDC okuvuganya mu kuddamu okulonda omubaka wa Omoro County.Pulezidenti wa FDC Patrick Oboi Amuriat yalangiridde Owani mu lukungana lwa bannamawulire okutudde ku kitebe y'ekibiina kino e Najjanankumbi .Owani nga si gwemulundi gwe ogusoose okwesimba ku kifo kino, agamba nti kumulundi guno essuubi okukiwangula alina ddene.