EZ’ABALI WANSI W’EMYAKA 17 : Uganda ekubye Burundi ggoolo 4-0
Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira ey’abali wansi w'emyaka 17 ekubye Burundi ggoolo 4-0 mu mupiira oguzannyiddwa leero mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia. Omupiira guno gwegugguddewo empaka z'okusunsulamu abaneetaba mu Afcon w'abali wansi w'emya 17. Ggoolo ziteebeddwa Alex Yiga, Arafat Nkoola ne Richard Okello.