ETTAKA LYA KABAKA E KIGO: Ebyapa Ham Kiggundu bye yafuna bisaziddwamu
Akulira eggwandiisizo ly’ebyapa mu ggwanga alagidde ebyapa byonna omusuubuzi Hamis Kiggundu byeyafuna ku ttaka lya Kabaka e Kigo bisazibwemu kubanga yabifuna mu bukyamu. Kamiisona Baker Mugaino bino abitadde mu nsala y’omusango obwakabaka gwe bwawaabira Hamis Kiggundu wansi wa kampuni ya Kiham Investements nga bumulimiriza okufuna ebyapa bya Freehold ku ttaka lya Kabaka mu bukyamu era nga baasaba bisazibwemu. Ettaka eryogerwako lisangibwa Kigo wakati w’ennyumba z’obwakabaka eza Mirembe Villas ne Serena Hotel Kigo era nga liweza yiika 140. Ssaabawolereza w’obwakabaka Owek. Christopher Bwanika aliko byatangaazizza ku nsonga eno