ENTIISA E BIYIKWE: Omuserikale w’amakomera asse banne babiri
Waliwo omusirikale w’ekitongole ky’amakomera ategerekese nga ye Jacob Otim akubye banne babiri amasasi agabaggye mu budde mu kkomera lye Bugungu mu district ye Buikwe. Omu ku basirikale ono basse ye Eunice Abwoti ng'abadde amulinamu omwana ow'emyezi munaana. Wetwogerera omusirikale ono kati akuumibwa ku poliisi era nga bakyanoonyereza obuzibu kwe buvudde ono okutemula banne.