ENSONGA ZA BANNAMAWULIRE: Wateereddwawo akakiiko okutunula mu bibasomooza
Palamenti ng’eri wamu n’ekibiina ekigata banamawulire mu gwanga eky uganda Journalist association oba UJA batongoza akakiiko ak’enjawulo akagenda okulondoola ensonga z’abanamawulire mu gwanga. Akakiiko kano nga kagenda kukubirizibwa Teddy Nambooze omubaka omukyala awa distulikiti y’e Mpigi kakutunula mu nsonga ezisomooza emirimu gya banamawulire saako n’okulaba engeri gye basobola okutumbulamu enkola y’emirimu gyaabwe. Ng’atongooza akakiiko kano, Asuman Basalirwa omubaka wa munisipaali y'e Bugiri akiikiridde amyuka sipiika Anita Among , ategezzeza nti embeera banamawulire mwe bakolera ensangi zinno eyongedde okwonooneka nga weetagawo abantu abasobola okulaba nti bakola awatali kunyigirizibwa yadde okututunzibwa.