ENSIMBI Z’OKUKOLA ENGUUDO: Ab’e Nakaseke ezimu bazeesonyiye lwa ssente ezitamala
Abakulembeze mu district y’e Nakaseke bawaliriziddwa okwesonyiwa enguudo ezimu yadde nga ziri mu mbeera mbi nga bagamba nti ensimbi ezibaweebwa okuzikolako ntono nnyo bwogerageranya n'omulimu ogulina okukolebwa. District eno arina kilomita ezisoba mu 500 ez’enguudo z’elina okulabirira. Gyebuvuddeko waliwo abatuuze abava mu mbeera e Nakaseke nebekalakaasa olw’enguudo embi Poliisi eyajja okubagumbulula nayo mmotoka n’ekwamira mu luguudo abatuuze lwe baali beemulugunyako.