ENSALO YE KATUNA:Okugiggula kwa mande, ab’e Kabale beesunga
Kyadaaki egwanga lya Rwanda lisazeewo okugulawo ensalo yaalyo ne Uganda erya Katuna Gatuna oluvanyuma lw’ emyaka esatu nga nzigale.Ensalo eno okugalwaawo kyava ku butakaanya obwaali bubaluseewo wakati w’amawanga g'ombi mu 2019 era okuva n’olwo wazze wabaawo enteseganya ez’enjawulo okumalawo obutakaanya buno. Ekiwandiiko ekifulumizidwa gavumenti ya Rwanda kiraga nti ensalo eno yakugulawo ku balaza ya wiiki ejja .