ENSALO Y’E KATUNA EGGUDDWAWO: Ab’eby’amaguzi bokka be bakyakkiriziddwa okusala
Embeera ku nsalo ya Uganda ne Rwanda ey’e Katuna ekyali ya kimpooze.
Newankubadde ensalo egguddwawo olwaleero abavunaanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma Uganda bagamba enkizo eweereddwa abatwala eby’amaguzi bokka ng’abantu abalala abaagala okugenda okwegyalabya omuli n’abalambuzi bagyira balindako.
Wetukoledde eggulire lino, ng’emotooka emu yokka yeyakasala okuva e Rwanda okudda e Uganda.