ENNONGOOSEREZA MU SSEMATEEKA: Ababaka batandise okuteesa ku ky’ebisanja
Ababaka ba palamenti batabukidde ssentebe w'akakiiko k'ebyamatteeka mu palamenti Jacob Oboth Oboth n'ababaka abalala ku kakiiko k'ebyamatteeka nga baagala bannyonyole gyebajja ekirowoozo ky'okwongeza emyaka ku bisanja by'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo okuva ku etaano okudda ku musanvu. Bino bibadde mu kukubaganya ebirowoozo ku noongoosereza mu ssematteeka okubaddewo olwaleero mu palamenti.